Mark 14:12-16

Ekyekiro kya Mukama Waffe

12 aAwo ku lunaku olusooka olw’embaga y’Abayudaaya kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, nga bawaayo omwana gw’endiga ogw’Okuyitako nga ssaddaaka, abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Oyagala tukutegekere wa gy’onooliira Embaga ey’Okuyitako.”

13N’atuma babiri ku bayigirizwa be, n’abagamba nti, “Mugende mu kibuga munaasanga omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi, mumugoberere. 14Muyingire mu nnyumba mw’anaayingira, mubuuze nnyinimu nti, ‘Ekisenge nze n’abayigirizwa bange mwe tunaalira Embaga ey’Okuyitako kiri ludda wa?’ 15 bAjja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu, ekiwedde okulongoosa n’okutegeka. Muteekereteekere omwo ekijjulo kyaffe.”

16Awo abayigirizwa ababiri ne bagenda mu kibuga, ne basanga byonna nga Yesu bwe yabibagamba, ne bateekateeka Okuyitako.

Copyright information for LugEEEE